Leviticus 3:3-5

3 aOmu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 4n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 5 bKale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

Copyright information for LugEEEE